Amawulire

GISO ne Bassentebe 2 bakwatibwa lwakwekobaana nábamenyi bamateeka

GISO ne Bassentebe 2 bakwatibwa lwakwekobaana nábamenyi bamateeka

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu district y’e Jinja ekutte ba sentebe b’ebyaalo 2 ne GISO lwakwekobaana n’abamenyi b’amateeka ne balemesa Poliisi okukola ogwaayo.

Abakwate kwekuli George Waiswa Matende ow’ekyaalo Budhumbuli Commercial Zone ekisangibwa mu Bugembe mu kibuga Jinja wamu ne Hamid Musika, sentebe w’ekyaalo Wanyange Lake ekisangibwa mu Kakira Town Council mu district y’e Jinja.

Okusinziira ku James Mubi ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kiira mu District y’e Jinja, baliko ne GISO gwebakutte ow’okukyaalo Bugembe Stephen Muwaya.

Bonna bano bavunaanibwa kwekobaana nebalemesa Poliis okukola ogwaayo nga bakukulira amawulire agakwata ku bantu bebamanyidde ddala nti bamenyi b’amateeka mu bitundu byabwe byebakulembera.

Mubi agamba nti bano kitundu ku bantu abasoba mu 100 bebakutte mu bikwekweto ebifuuzizza ab’amenyi b’amateeka okwetoloola ekibuga ne district ey’e Jinja nga biyindidde mu bitundu okuli Buwenge, Wakitaka, Mafubira, Nbakango, Buwenge nd Kakira TC n’ebilala.