Amawulire
Goonya ye Namayingo teyandittiddwa
Ab’ekitongole ekikola ku bisolo by’omu nsiko bavumiridde eky’okutta goonya e Namayingo.
Ku lw’okuna lwa ssabbiiti eno, abatuuze be Namayingo beegatta nebatta goonya gyebagamba nti yali esse n’okulumya abawera
Akulira ekitongole kino Dr. Andrew Seguya agamba nti kituufu kiruma okulaba nti goonya eno eridde abawera kyokka ng’okugitta ssi kituufu.
Sseguuya asuubizza nga bwebagenda okutandika okusomesa abantu ku ngeri y’okubeeramu n’ebisolo mu kifo ky’okubirumya.