Amawulire
Gwebakwatidde mu kisulo ky’abawala awonye okufa
Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omusajja owemyaka 35 asimattuse okiutibwa, bweyesolosezza nayingira mu kisulo kyabwala ku ssomero lya Bright Future Senior Secondary School mu district ye Kaliro.
Saddam Tagenya nga mutuuze mu kabuga ke Kaliro kigambibw ayayingidde mu kisulo ku ssaawa 8 mudde bwekiro, nga nekigendererwa kye tekitegerekese.
Kati bwebamulabye enduulu nevuga oluvanyuma nebamukwata, nebatanula okumukuba.
Atwala okunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Kaliro David Agi agambye nti baayitiddwa, nebasobola okumutaasa.
Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.