Amawulire
Gwebanyiga ebbeere mu kooti
Akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe olutalo lwokumunyiga amabeere alututte mu kooti.
Ono awaabye aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi ng’ayagala amusasule obukadde bitaano.
Turinawe agamba nti ekikolwa kino kyamuswaza eri bba n’abaana be.
Ono era ayagala Kaweesui ayogere mu lujjude amannya g’omu poliisi eyamunyiga ebbeere era agobwe ku mulimu.
Ono ayise mu bannamateeka be aba Rwakafuzi and o advoates