Amawulire
Jimmy Akena asanyukidde ensalawo ya Kkooti mu musango ogubadde gumuvunanibwa
Bya Prossy Kisakye,
Senkagale wékibiina kye byobufuzi ekya Uganda people’s congress president Jimmy Akena, asanyukidde okusalawo kwa kkooti mu musango oguwakanya obukulembeze bwe.
Prof. Edward Kakonge yaddukira mu kkooti omwaka oguwedde nga awakanya ekya Akena okutegeka nokukubiriza tabamiruka wekibiina eyali Kasangati ngennaku zomwezi 1august omwaka oguwedde.
Ono yasaba kkooti esazeemu ebyasalibwawo mu tabamiruka ono kuba byayisibwa mu bukulembeze bwa Akena atenga kkooti yali yasazaamu obukulembeze bwe mu 2015 newankubadde nga ekiragiro kya kkooti kyajja kikerezi ngekisanja kye kyebaali bawakanya kyagwako nga azzemu nókulondebwa ku kisanja ekirala.
Wabula olunaku lweggulo kkooti enjulirwamu yagobye okusaba kwa prof. Kakonge bweyategezeza nti omusango gugenderedde ku malira kkooti biseera.
Mu kwogerako ne bannamawulire enkya ya leero ku kitebe kye kibiina mu Kampala, Akena asanyukidde okusalawo kwa Kkooti nategeza nti omusango keguwedde obwanga abwolekeza kuzimba mirandira gya kibiina okulaba nti UPC edda mu buyinza.