Amawulire
Jjayo okujulira- Ababaka ba NRM balagidde ssabawolereza
Ababaka b’akabondo ka NRM basabye ssabawolereza wa gavumenti okugyayo okujulira kwe mu kkoti etaputa ssemateeka, nga ono abadde ayagala kuwakanya ensala ya kooti kku teeka ly’ebisiyaga.
Nampala w’ekibiina kino Justine Lumumba agamba kino bakikoze okusobozesa abakabondo okuzza ebbago mu parliament , nga tebakontanye na kooti ,singa entandika okuwulira okujulira kuno
Kinajukirwa nti Olunaku olw’eggulo gavumenti yatutte ekiwandiiiko mu kooti ya ssematteek, nga ebategeeza nga bweereta okujulira kwayo,nga lyaogobwa oluvanyuma lwabalamuzi okutegeeza nti ababaka baaliyissa baali tebawera.
Kati Lumumba agamba nti bbo nga akabondo mukaseera kano basala ntonto zakuzza teeka lino nate mubwangu dala, kale nga beetaga agire nga dda kubali , ekubo bakwate lya parliament , so ssi kkooti
Bino webigidde nga bbo Abaaliko abasiyazi baagala gavumenti eteekewo ebifo ewanabudabudibwa abantu abaaliko mu muze guno ,nga baagala kudda mu bulamu bwabulijjo.
Ebifo ebisinga bili ku musingi gwa ddiini nga ate bisinga mu bibuga.
Kati ssentebe w’ekibiina ekigatta abantu bano mu ggwanga George Owundo agamba bangi ku banaabwe baddamu okukola omuze guno lwakubolebwa.
Ono agamba nti buli lunaku bafuna kumpi abavubuka nga bataano nga baagala okuva ku muze guno, wabula olw’obutaba nabifo webabateeka babagoba.