Amawulire
Kabaka ayagaliza Abasiraamu Iddi ennungi
Bya Prossy Kisakye,
Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye Abasiraamu okukozesa ebikujjuko bya Eid eby’enkya okusabira amaka n’emyoyo gya Bannayuganda bonna abafiira mu mbeera etategeerekeka mu biseera ebiyise.
Kabaka okusinga asabye Abasiraamu okusabira emyoyo gy’abantu abasoba mu 40 abaafiirwa obulamu bwabwe mu bulumbaganyi obwakolebwa ku ssomero lya siniya mu disitulikiti y’e Kasese gyebuvuddeko abayeekera ba ADF.
Mu bubaka bwa Eid-al-Adhuha bwaweerezza nga beetegekera ebikujjuko byabuli mwaka, Kabaka asabye Abasiraamu okusabira Bannayuganda abayita mu bizibu omuli embeera yóbwavu eyasajjuka oluvanyuma lw’ekirwadde kya Covid-19, okulumba eggwanga n’endwadde.
Mu kiseera kimu asabye Abasiraamu okukozesa ebikujjuko bino okwebaza Allah olw’obulamu bwabwe, kuba abasobozeseza okubeera abalamu yadde ng’ebiseera by’ebyenfuna bikaluba.
Abasiraamu okwetoloola ensi yonna enkya bagenda kujaguza Id Al Adhuha, mu kujjukira ekikolwa kya nabbi Ibrahim okwagala okugondera ekiragiro kya Katonda yali akkiriza okusaddaaka mutabani we Ismail songa gwe yalina yekka.
Wabula oluvannyuma Katonda yalaba omutima gwe nga gumaliridde namusindikira endiga gyeba assaddaaka mu kifo kya mutabaniwe.