Amawulire
KABAKA- Emyaka 30 nga atudde ku Namulondo
BY MIKE SEBALU
Abantu abasoba mu 3000 bebasuubirwa okwetaba ku mikolo gy’okujjukira amatikkira ag’omutanda Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 30 egitegekeddwa leero mu Lubiri e Mengo.
Sentebe w’akakiiko akateesiteesi David Mpanga agamba nti ku mulundi guno abantu ba beene okuva masaza gonna ag’a Buganda bakkiriziddwa okwetaba ku bikujjuko bino omulundi ogugenda okusookera ddala okuva ekimbe ki Covid19 lwekyalangilirwa nti kirinyiddwa ku nfeete.
Mpanga era yategeezeza nga bonna abaneetaba ku mikolo gino bwebagenda okukkirizbwa okujja n’amasimu gabwe ag’omungalo ekintu ekitabadde kya bulijjo.
Ebikujjuko by’omulundi guno bikuziddwa wansi w’omulamwa ogugenderera okuwagira ebika okuzza Buganda ku ntikko.
Mpanga agamba nti baagadde abantu bamanye obukulu bw’ebika byabwe n’obuvunanyizibwa bwebirina okusobola okukulakulanya obwa Kabaka.
Okuva ku lunaku lw’okutaano, wazze wabeerawo okusaba okwenjawulo okuviira ddala mu mizikiti n’amakanisa olw’obulamu obw’omutanda n’okumuyozayoza olw’okuweza emyaka 30 nga atuuziddwa ku Namulondo.
Byo eby’okwerinda binywezeddwa nga emilyango gisuubirwa okuggurwawo ku saawa 2 ez’okumakya eri abagenyi abayite.
Katikkiro asuubirwa okutuuka ku kifo awategekeddwa emikolo ku saawa 5 ez’okumakya olwo Kabaka alabikeko eri Obuganda ku saawa 6 ogw’emisana.
Ssabalabirizi wa Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Stephen Kazimba Mugalu yagenda okukulemberamu okusaba kwamatikkira gano.