Amawulire

Kabuleta awabudde Gavt kubya ”middle income status”

Kabuleta awabudde Gavt kubya ”middle income status”

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale wekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta agamba Uganda ekyalina olugendo lwámaanyi okutuuka mu lubu lwabali yadde yadeko oba kiyite middle income status.

Mu kwogerakwe okusembyeyo eri eggwanga pulezidenti Yoweri Museveni yagamba nti newankubadde Uganda eyise mu kusomoozebwa kwe byenfuna mu myaka 2 egiyise yasobola okutuuka mu lubu lwa mawanga agali yadde yaddeko.

Yategeeza nti kati munnauganda asobola okuba ne doola za America 1,046 GDP omwaka okuyisa ekigera kya banka yensi yonna ekya 1,036.

Wabula ebigambo bya Museveni banaka yensi yonna yabiwakanyiza ne tegeeza nti Uganda tenatuuka mu middle income status

kati bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za NEED e Bugoloobi, Kabuleta awadde gavumenti amagezi okuzza eby’obugagga eby’omu ttaka mu mikono gya bannansi ba Uganda, okussa ssente ennyingi mu by’enfuna by’ebirime eby’ennono, okukendeeza ku misolo mu basubuuzi ate n’okukomya okugula ebweru ebintu ebisobola okukolebwa kuno.