Amawulire
Kadaga agumizza bannadiini ku bisiyaga
Waliwo ekibinja ky’abakukulisitu ekirumbye palamenti nebakwanga sipiika Rebecca Kadaga ekiwandiiko nga baagala etteeka ku bisiyaga liddemu okuletebwa mu palamenti liddemu okufulumizibwa.
Kkooti etaputa ssemateeka yasazizaamu etyasoose lwababaka abesssalira abalina okuyisa etteeka lino obutawera.
Abasumba Wilber Mukisa ne George Oduch bebakwanze sipiika ekiwandiiko kino nebategeeza nga nga namujinga w’ebisiyaga bwatandise okulya abagoberezi ba kulisitu empisa gyebatayinza kugumikiriza.
Bano kati baagala ababaka bonna baleme kwebulankanya nga etteeka eddala liyisibwa.
Kadaga ategezezza nga palamenti bwelinda ababaka abetaagisa okuzza etteeka lino liddemu okutunulwamu.
Ebyo nga bikyali bityo bbo ababaka abasoba mu 200 bebakawaayo emikono okusobola okuzza etteeka lino mu palamenti.
Akulembeddemu kawefube ono , Latif Ssebagala agamba ababaka bangi bajumbidde nga era essaawa yonna etteeka baakulizza mu palamenti.