Amawulire

Kadaga yewolereza ku mivuyo gyámabati

Kadaga yewolereza ku mivuyo gyámabati

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omumyuka wa Ssaabaminisita asoose era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukago gwa East Africa, Rebecca Kadaga ayogedde ku mivuyo gyókubba amabaati egyawulidwako mu ofiisi ya Ssaabaminisita.

Ebiwandiiko biraga nti Kadaga nga yaliko sipiika wa palamenti yafuna amabaati 500.

Nga ayita ku mukutu gwe ogwa twitter, Kadaga akakasizza nti yasabye era n’afuna amabaati 250 okuva mu 0ffice ya Ssaabaminisita okusobola okuddaabiriza eddwaliro rya Buzaaya Health sub district, Health Centre II, erisangibwa e Buwooya, mugombolola yé Bugulumbya mu Disitulikiti y’e Kamuli.

Ayongedde okutangaza nti amabaati amalala 250 geyafuna yagakozesa okudabiriza essomero lya Buwooya Primary school eryayononebwa omuyaga ogwalimu nomuzira

Emivuyo gya mabaati agagambibwa okuba nti galina kugenda kutaasa batuuze be karamoja giviriddeko palamenti ne kaliisoliiso wa gavt okusitukiramu okwagala okumanya amayitire gaago, oluvanyuma lwa mawulire okulaga nti gasanyibwa munju ya minisita we karamoja Gorret Kitutu

Akakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga akakulirwa omubaka omukyala ow’omu disitulikiti y’e Adjumani, Jessica Ababiku, ku Mmande ya wiiki ejja kasuubirwa okutandika okunoonyereza ku nsonga eno nóluvanyuma baveeyo ne alopoota bagigwange palamenti