Amawulire
Kagina ennyuse ekitongole ekiwooza
Akulira ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority alangiridde nti akoma okuwereeza ekitongole kino mu mwezi gw’ekkumi.
Allen Kagina agamba nti tayagala kugenda mu maaso na kuwereeza kitongole kino yadde nga tayogedde oba alagawa.
Omukulu ono bino abyogedde asisinkanye bakulu banne mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’enfuna by’eggwanga
Kagina agambye nti musanyufu nti awerezza n’omutima gumu era nga kati agenda kukola gigye
Kagina yayingira ekitongole kino mu mwaka gwa 1998 era nga yakuzibwa mpola okutuuka okukulira ekitongole kino mu mwaka gwa 2004.