Amawulire
Kaihura aswazizza Omala, abe Makerere abagaanye okwongeza ebisale
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kaihura ategezezza nga eky’abakulira ettedekero lino okwongeza ebisale by’okutikira abayizi bwekyabadde tekyetagisa era kisaana okuyimirizibwa mbagirawo.
Nga ayogerako nebannamawulire, Kayihura ategezezza nga abakulira ettedekero lino bwebatalina lukusa kwongeza bisale byonna awatali kukakasibwa okuva eri gavumenti.
Ono era aswazizza musajjawe abadde aduumira poliisi okukakkana abayizi ababadde bekalakaasa nga bwekibadde tekyetagisa kukozesa manyi kugumbulula bayizi bano era n’amulagira abetondera era naye ky’akoze.
Mungeri yeemu bbo abayizi 8 bakwatiddwa nga bagezako okulumba ebiliiro by’emmere mu kikono okwagala okwonona ebintu nga era kati bakuumirwa ku poliisi y’e Makerere.
Abayizi baavudde mu mbeera nebekalakaasa lw’abakulira ettnedekero lino okwongeza ebisale by’okutikirwa nga era babadde bakyavudde mu mbeera yadde nga ensimbi zino zibadde ziyimiriziddwa.