Amawulire
Kajubi kati agenze mu kkooti y’okuntikko
Munnabyabusuubuzi Godfrey Kato Kajubi azzeeyo mu kkooti ng’agenze mu kkooti y’okuntikko
Ono awakanya ekibonerezo ky’amayisa ekyamuweebwa n’okusingisibwa omusango
Kajubi yakasingisibwa omusango gw’okusaddaaka omwana Joseph Kasirye emirundi ebiri
KKooti enkulu yeeyasooka okumusingisa omusango ne kkooti ejulirwaamu n’ekola ekintu kyekimi
Mu kujulira kw’ayisizza mu munnamateeka we Anthony Wamei , Kajubi agamba nti abalamuzi bonna beesigama nnyo ku bujulizi obwatwalibwa omusawo w’ekinnansi ne mukyala we nti yeeyali yabalagira okusaddaaka omwana ono ate nga ssi bweguli
Kajubi omusango yaguzza mu mwaka gwa 2008 ng’ate omulambo gw’omwana ayogerwaako gwasangibwa mu kisiko nga gusaliddwaako ebitundu by’omubiri ebimu