Amawulire
Kaliisoliiso alabudde ba juniya offisa kunguzi
Bya Ndaye Moses,
Kaliisoliiso wa Gavumenti Betty Kamya alabudde abakozi ba gavumenti abasookerwako obutakozesebwa banne mu kwenyigira mu nguzi.
Agamba nti bambega, bwebatandika okunonyereza wekanga bakwata bano abakozesebwa okulya enguzi olwo bakama baabwe ne batakwatibwako songa bebeera emabega waayo.
Bino abyogedde ng’asisinkanye abakola ku by’okugula ebintu, okuva mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo, omuli ebyentambula, n’abawandiisi n’abalala, mu kampeyini w’okumanyisa abantu obulabe obuli mu buli enguzi.
Kamya agambye nti ekitongole ekivunanyizibwa ku kugula ebintu kye kisingamu enguzi.