Amawulire

Kaliisoliiso asabiddwa okudamu okwetegereza ekiragiro kye

Kaliisoliiso asabiddwa okudamu okwetegereza ekiragiro kye

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2023

No comments

Bya prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira abakozi mu ggwanga ki National Organization for Trade Unions kikubye ebituli mu kusalawo kwa kaliisoliiso wa gavumenti bweyalagidde eyali akulira ekitongole ekitereka ekitavu kya bakozi ekya NSSF Richard Byarugaba nákulira ebyensimbi mu kitongole ekyo Stevens Mwanje okusesema obuwumbi bwensimbi za Uganda butaano ezafiirizibwa ekitongole elwe nkwata embi.

Kaliisoliiso wa Gavumenti, Betty Kamya bweyabadde afulumya alipoota okuva mu kunoonyereza ku bigambibwa nti NSSF efumbekeddemu obuli bwenguzi nénzirukanya yémirimu embi, yagambye nti ababiri bano bakkiriza mu ngeri etategeerekeka okusasula obuwumbi buna n’obukadde 400 eri omukozi eyawummula ngémyaka kwalina okuwummulira teginatuuka.

Wabula Ssentebe wa NOTU, Usher Wilson Owere ategeezezza Dembe FM nti okusalawo kuno si kwa bwenkanya kubanga ssente ezoogerwako zaayisibwa olukiiko olufuzi olwékitongole kino so si Byarugaba ngómuntu.

Asabye Kaliisoliiso okuddamu okwetegereza ensonga eno n’obwegendereza.