Amawulire
Kalungi Asibiddwa Emyaka 4
Adam Sulaiman Kalungi nga ono y’eyali muganzi w’omugenzi Cerina Nebanda eyali omubaka omukyala ow’eButalejja asibiddwa emyaka 4.
Bwabadde amuwa ekibonerezo kino, omulamuzi wa kooti ento eye Makindye Esther Nambayo ategezezza nti kalungi yalagajalira omugenzi Nebanda okumutwala mu ddwaliro bweyamusanga nga ataawa ekyamuviirako okufa.
omulamuzi era ategezezza nti okufa kwa Cerinah Nebanda kwava ku bitundu bye ebyomunda byonna okulekerawo okukola olw’omwenge n’ebiragalalagala.
Wabula amangu ddala nga omulamuzi yakasala ekibonerezo kino banamateeka ba Kalungi nga bakulembeddwamu Nsubuga Mubiru bategezezza nti bakujulira kubanga omuntu waabwe mpawo musango gweyazza era ekibonerezo kino kikakali.
Kalungi nga 31 January omwaka guno yasingisibwa ogwokuvaako okufa kw’eyali omubaka omukyala owe w’eButalajja Cerinah Nebanda.
Wabula emisango emirala okwali ogwokubeera n’ebilagalalagala gyamujibwako.
Ye gwabadde avunanibwa naye Ali Umar nga yasingisibwa ogwokusangibwa n’ebilagalalagala asibiddwa omwaka gumu oluvanyuma lw’abalala abana omulamuzi okubejereza..
Kalungi emisango gino kigambibwa nti bajizza nga 14th December 2012 wali e Buziga mu division ye Makindye