Amawulire
Kampala efunye Obutabalika 2.2 okukola ku bizibu byaayo mu Mbalirira yéggwanga
Bya Juliet Nalwooga ne Rita Kemigisa
Minsita owebyensimbi Minister Matia Kasaija afunye obutabalika 2 nobuwumbi 200 okukola ku mataba agatawanya ekibuga kampala buli nkuba bwetonya.
Ensimbi zino era zakukola ku kumalawo akalipagano ke bidduka mu bitundu bya kampala ne miriraano.
Bweyabadde asoma embalrira ye ggwanga eyomwaka gwe byensimbi ogujja, Kasaija yategezeza nti ensimbi zino zitekebwa ku bbali okukola ne kunguudo embi, n’ebbula lye mirimu mu disitulikiti okuli Kampala, Wakiso, Mukono ne Mpigi.
Kunsimbi zino enguudo eziweza Kilo mita 504 zakwongerwako omutindo, okulongoosa enkuluungo, emyala 30, obutale 23 ne bibangirizi.
Mu mbalirira y’eggwanga eya 2023/2024, eyóbutabalika 52.7, obutabalika 4.5 zatereddwa ku bbali okukola ku byenguudo, entambula yókumazzi, eyeggaali yómukka ne nnyonyi.
Mungeri yemu Government etadewo obuwumbi bwensimbi 192 okuyitimula enkola eya digital ne technologia okutuuka mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo mu mwaka gwe bye nsimbi ogujja.
Minisita Matia Kasaija agamba nti gavumenti omwaka ogujja egenda ku bunyisa WiFi mu masomero, obutale, Amalwaliro ne bitundu ebyewala.