Amawulire
Kampuni y’aba China enazimba oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Tororo-Gulu
Bya Juliet Nalwooga. Gavumenti etadde emikono ku ntegeregana ne kampuni ya China eya M/S China Road and Bridge Corporation ya myaka 2 okuddaabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Tororo okugenda e Gulu.
Oluguudo luno luwerako obuwanvu bwa kilo mita 375 era nga luyita mu bitundu okuli Mbale, Soroti, Lira ne Gulu.
Omulimu guno gugenda kumalawo obuwumbi bwezakuno 199 n’obukadde 900.
Minisitule y’eby’entambula ng’eri wamu ne Uganda Railya Corporation, nga kyekitongole kya gavmenti ekivunanyizibwa ku ntambula y’eggali y’omukka mu ggwanga bebatadde omukono ku ndagaano eno ku lwa gavumenti.
Okusinziira ku Uganda Railways Corporation, oluguudo luno bwelunaaba luwedde okudaabilirizibwa, lwakwanguyiriza eby’entambula n’okutumbula obusuubuzi mu bitundu ebyo gyelugenda okuyita.
Mu milimu egigenda okukolebwa mwemuli okuzimba emifulejje, okuteekako ebyuuma bipya okutambulira eggali y’omukka, okuzimba ebifo eggali y’omukka w’esalira n’enguudo endala n’ebilala.
Omukolo guno gubadde ku kitebe kya Uganda Railways Corporation mu Kampala.