Amawulire
Kampuni za bettingi zikaligiddwa
Gavumenti eyongezezza ensimbi ezirina okusasulwa ssente za betingi ezitandika
Kati abalina kkampuni zino bakusasula obukadde 500 okuva ku bukadde 200
Kino kigendereddwaamu kulaba nti basengejja okujjamu kkampuni eziyinza okuba nga zeenonyeza byaazo.
Akulira ekibiina ekirambika emizannyo gya zaala mu ggwanga Manzi Tumwine agamba nti olw’ensimbi entono zebabadde basaba, kkampuni nyingi ezenonyeza ebyaazo zibbye abantu
Mu ngeri yeemu ekitongole kino kiyigga omuchaina agambibwa okwesogga eggwanga n’ebyuma ebitasasudde musolo.
Manzi agamba nti omusajja ono atambula abba abantu