Amawulire
Kamya ayagala abayingira yafeesi za gavt basookenga kwanja bya Buggaga byabwe
Bya Juliet Nalwooga,
Kaliisoliiso wa Gavumenti (IGG), Beti Kamya ayagala abakungu ba gavumenti bonna abapya balangirire obugagga bwabwe nga tebannayingira ofiisi.
Kamya agambye nti bategese okuleeta mu maaso ga kabineti ekiteeso nga bayita mu ssaabaminisita, okussaawo etteeka eriragira omukungu yenna omuggya mu gavumenti okusooka okulangirira obugagga bwabwe nga tebannakwata ofiisi yonna.
Abakungu ba gavumenti balina okutuusa nga March 31st okulangirira obugagga oba boolekedde ebiyinza okuvaamu olw’obutakikola
Mungeri yeemu Dr. Patricia Achan amumyuka kaliisoliiso wa gavumenti, Dr. Patricia Achan agambye nti betaaga ensimbi ezimala okulondoola enfuna ne nyingiza ya bakungu ba gavt