Amawulire

Kanisa erabudde abaweereza abaana mu bazungu

Ali Mivule

December 16th, 2014

No comments

Ntagali

Kanisa ya Uganda evumiridde ekikolwa kyabazadde eky’okugaba nga abaana baawe eri abazungu babalabirire ,  nga kino mukaseera kano kibafudde baddu benyini  .

Bwabadde awa obubaka bwa mazaalibwa, ssabasumba we kanisa ya Uganda  His grace Stanley Ntagali agambye nti ensangi zino abazadde beesabye abaana baabwe nebasalawo okubawerekereza e bunaayira , ky’agambye nti kuba kwebalama buvunayizibwa bwaabwe.

Mungeri yeemu ono avumiridde ebikolwa eby’okukukusa nga abantu nga babatwala ebweru wa Uganda naddala ab’obuwala, kyoka newankubade babalimba mirimo gyebiweera nga bafuuse bamalaya.