Amawulire
Katikiro ajjukiza ku biteeso ebitatekebwa mu nkola
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye olukiiko lwa Buganda okutandika okwekenenya ebituukiddwako okuva omwaka oguwedde mu alipoota namutayiika gyeyalangirira eri obuganda.
Gyebuvuddeko Ssabasajja azze akubiriza olukiiko obutayisa buyisa biteeso wabula byonna bitekebwe mu nkola.
Mayiga era asabye poliisi okwongera amaanyi mu kunonyereza ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga naddala mu bitundu bye Mpigi, Kabula n’ebitundu ebirala.
Bino Katikiro abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda wali e Bulange Mengo