Amawulire

Katikiro Mayiga atabukidde abalemesa Buganda

Ali Mivule

February 20th, 2015

No comments

 

Katikiro 1 (1)

Katikiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga awanjagidde abantu ba Ssabassajja okufaayo okulabirira abaana nokubasomesa kubanga lye’ssuubi  lya Buganda ery’ebiseera ebyomumaaso.

Katikiro avumiridde ekyabazadde okumala gazaala nebasulirira obuvunayizibwa okulabirira abaana nga bawoza mbu buli mwana nomukisa gwe.

Abadde wa mutaka Charles Ssemanda mu kibuga Mukono gy’akunganya ettoffaali  nategeeza nti enkola eno ya dda nyo tegwanidde ku mulembe guno Omutebi.

Wano w’ayambalidde bannabyabufuzi okuva mu gavumenti eya wakati abakyasimbira ekkuuli ekyokuzza ebintu bya Buganda sso nga enteseganya ezawagulu zatukibwako nti kino bakikomye.

Anokoddeyo ba ssentebbe bazi district, abamagombolola nabalala.