Amawulire
Katikkiro aboggode ku byapa-byaffe
Kyaddaaki kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddemu omwaasi ku byaapa ebyaweebwa Buganda
Kamalabyonna atuukidde ku kuwakanya bigambo bino n’ategeeza nga bwebatannafunako kiwandiiko kyonna okuva eri gavumenti nga kibalagira okuzzaayo ebyapa ebyogerwaako.
Katikkiro agambye nti ebigambo bino tebiriiko mitwe na magulu era nga bigendereddwaamu kujja Buganda ku mulamwa.
Ng’ayogera ku mbalirira y’eggwanga Katikiro agambye nti waddenga abantu balina okuwa omusolo, government erina okwewala okubinika abantu emisolo emingi.
Mayiga era agambye government erina okufuba okulaba ng’emisolo tegyibibwa.
Olwaleero kamalabyonna alambuzizza abantu wa omulimu gw’okuzimba masengere wegutuuse era ng’obukadde 15 bw’akunganyirizza mu kadde ako.