Amawulire
Katikkiro agenze e Buruuli- alangidde abalumba Buganda
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga w’owulirira bino nga atandise okukunganya etaffaali mu ssaza lya ssabasajja erye Buruuli.
Katikiro asoose kusolooza taffaali mu bitundu bye Kakooge nga kati ayolekedde ku kitebe kya disitulikiti e Nakasongola.
Wabula poliisi egumbuludde ekibinja ky’abavubuka ababadde bagumbye ku kitebe kya disitulikiti nga bateberezebwa okwagala okukyankalanya enteekateeka za Katikiro.
Bino bijidde mu kiseera nga aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi kyajje yevumbe akafubo n’abakulira abaluuli mu disitulikiti ye Nakasongola oluvanyuma lw’okusika omugwa ku kukyaala kwa Katikiro .
Abaluuli bano baabadde baweze okuziyiza katikiro okukunganya etaffaali mu kitundu kyabwe nga bekwasa nti obwakabaka bwa Buganda tebwabasabye lukusa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba Kaweesi y’asoose kusisinkanamu bwakabaka bwa Buganda nga kati ayagala batuuke ku nzikiriganya n’abaluuli.
Enanga agamba poliisi yayiiriddwa ddwa mu bitundu bye buluuli ebitali bimu okwewala effujjo lyonna.