Amawulire

Katikkiro akubiriza bannauganda okuwagira omulimo gwókusima amafuta

Katikkiro akubiriza bannauganda okuwagira omulimo gwókusima amafuta

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, akubiriza bannauganda okwewala endoowoza enkyamu ze balina ku ntekateeka yókusima amafuta.

Okwogera bino abadde alambula ekisaawe kye nyonnyi ekiri mu kuzimbibwa e Buliisa, mu lugendo lwe lwaliko olwókulambula ebifo awagenda okusimwa amafuta.

Ono agamba nti awulidde bannauganda bangi nga bagereesa nti Okusima amafuta kwakumalawo ebisolo mu ggwanga, okusanyaawo entobazi ne bibira, okukosa obulamu bwa bantu abaliranye ebitundu gye gagenda okusimwa ne birala.

Katikkiro agamba nti bino si bituufu era akubiriza bannuagnda okuwagira entekateeka eno nga batunulira ebirungi entoko ebinaagivaamu.

Ate ye Alex Nnyombi director development and production okuva mu kitongole ki Petroleum Authority Uganda alaze emitendera amafuta gyegagenda okuyitamu okuviira ddala mu kugasima okutuuka mu kugatambuza okutuuka e Tanzania era aggumiza bannauganda nti ensonga zonna ezeelalikiriza abalwanirizi bóbutonde zaakolwako dda.