Amawulire
Katikkiro alabudde abakulu b’ebika
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abakulu b’ekikka abagufudde omuzze okwawulayawula mu bazukulu ba Buganda.
Katikiro okwongera bino abadde alaga obuganda Mugema w’amasiro amanyiddwa nga Mugema Ssentogo11.
Mayiga agambye nti waddenga ebifo ebyobukulembeze mu bikka birina okujuzibwa, abo abalondeddwa balina okukola emirimu gyabwe mu bwesimbu.
Mayiga era asinzidde wano n’alabula banadiini abatandise okwongera enkola y’ettaffaali amafukule.
Mayiga agambye okuzimba amasiro wamu n’okusa ekitibwa masiro tekirimu sitani okuba n’ebanadiini balina ebifo nga Mecca wamu ne Roma gyebalamaga.
Ye Katikiro w’ekikka ky’ekima Dick ssali anyonyodde ntiMugema w’amasiro tali wagulu wa Mugema omukulu era ngayakola emirimu gy’obuwangwa gyona mu masiro okukyako okwabya enyimbe z’abalangira.