Amawulire

Katikkiro asabye gavt okufuula ennimi ennansi ezóbuwaze mu masomero

Katikkiro asabye gavt okufuula ennimi ennansi ezóbuwaze mu masomero

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga akakiiko akatekebwawo gavumenti okutereeza ebyensoma bye ggwanga lino aka Education Policy Review Commission (EPRC) kakyagenda mu maaso nokufuna endowooza za bakwatibwako kunsonga eno, obwakabaka bwa Buganda buwadde amagezi gavumenti kungeri gyesobola okuteereezamu ebyenjigiriza ku mutendera gwa primary ne secondary.

Bwabadde awaayo endowooza z’obwakabaka bwa Buganda ku by’enjigiriza eri akakiiko kano, Ssentebe w’akakiiko ka Buganda akebyenjigiriza, Cotilda Nakate Kyeyune awadde gavumenti amagezi okukulembeza ekyókulaba nti abasomesa babeera mu mbeera ennungi awatali kusosola nti bano basayansi oba arts ng’alaga nti abasomesa balina okusasulwa obulungi nabo okufuna amaanyi agasomesa abayizi.

Era awadde amagezi nti gavumenti eyongeze omuwendo gwa basomesa mu masomero nga omusomesa omu abalirwa kukola ku baana 35 bokka.

Mungeri y’emu asabye abazadde obutesuurirayo gwannagamba wabula bakwatizeeko gavumenti mu masomero ga gavt abayizi basobole okuba ne byetaago byonna.

era asabye abakulu okulowooza kukyokuliisa abaana bonna mu masomero ekyemisana kuba abamu enjala ebalumirayo ebalemesa okusoma obulungi.

Mungeri y’emu Buganda esaba abayizi bonna ku mutendera gwa pulayimale ne siniya baweebwe omukisa okwenyigira mu mirimu gyómutwe kibasobozese okufuna omukisa ogw’okubiri mu nsi y’emirimu.

Ate ye Kamala byonna wa buganda Charles Peter Mayiga, asabye gavt okuteeka essira ku kyokusomesa ennimi ennnasi abayizi basobole okwanguyirwa okuwuliziganya.

ono ayagala ennimi ennansi zibeere zabuwaze okutuuka mu siniya eyókuna.