Amawulire

Katikkiro Mayiga agenze mu kkooti ku ttaka

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Katikkiro 3

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga addukidde mu kkooti ng’ayagala biragiro ebisengula abantu abesenza ku ttaka lye erisangibwa e Musaale mu Busiro mu disitulikiti ye Wakiso.

Katikkiro ayise mu munnamateeka we Denis Jjuuko ng;agamba nti mwetegefu okulaga nti yagula ettaka lino ku bukadde 30.

Agamba nti kyamwewunyisizza okulaba nga waliwo abantu babiri abazimbye ku ttaka lye nga tebafunye lukusa.

Mayiga ayagala abazimba bayimirizibwe  era abalyesenzaako bafumuulwe

KKooti akadde konna yakulaga ddi omusango lwegunatandika okuwulirwa