Amawulire
Katongole omutongole akwatiddwa
Poliisi ekutte n’eggalira omukozi wa TV Denis Katongole amanyiddwa nga Katongole omutongole.
Kigambibwa okuba nti bwezaali ng’ennaku z’omwezi 10 January, omutongole ono yatwaalako omuyizi we Namilyango owa siniya ey’okubiri eyali ava e Bulenga okudda e bweyogerere kyokka nga yakyaama n’amutwaala mu loogi e Kalerwe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba nti Katongole bamujje ku Total e Bweyogerere nga yegayirira bakadde b’omwana gweyasobyaako
Namaye agamba nti Katongole bamukebedde okulaba oba alina mukenenya era n’oluvanyuma agenda kuggulwako emisango gy’okujjula ebitannajja