Amawulire

Kattikiro atongozza kawefube w’okujja abaana ku nguudo

Kattikiro atongozza kawefube w’okujja abaana ku nguudo

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiiga asimbudde abagenda okutambuza, ebigere okuva e Kampala okutuuka e Karamoja nga bagenderedde okusonda ensimbi ez’okuyambako okujja abaana ku nguudo.

Kattikiro akubye omulanga eri abantu bonna, okufaayo enyo ku nsonga zabaana.

Enteekateeka eno ewoomeddwamu omutwe ekibiina ky’obwannakyewa ekya Dwelling Places.

Kati ngabaana bokunguudo 6 bakamala okubwa ekisenge kye ssomero lya Lohana High School, waliwo omulala nga John Zolo awo mu Kisenyi ayolekedde okufa.

Ono baamufumise ekiso ku bulago nga mu kiseera kino avunze era tumusanze talina bujnajabi bwonna.

Kati banne batunyonnyodde embeera munabwe gyalimu, era nebalumiriza nti waliwo owa LDU eyabalaumba namufumita.