Amawulire
Kayisanyo kakuzza baana mu masomero
Kayiisanyo mu kibuga Kampala ng’abazadde bagula ebyetaagisa okuzza abaana ku masomero.
Ebintu biwanikiddwa ebbeeyi naddala engatto z’abasomi n’ebikozesebwa kyokka nga kino tekirobedde bagula
Mu banka , enkalala mpanvu nga tuyiseeko mu banka ezimu ezisinga okusasulibwaamue nsimbi z’abayizi ng’enkalala zikwatiridde
Mu kikuubo, abaayo banoga wakati mu kanyigo olw’abantu abangi abagenze okugula.
Bw’owulira abazza abaana ku ssomero oyinza okulowooza nti bwekiri buli wamu.
Ssi bweguli eri abatuuze be Bwaise oluvanyuma lwa KCCA okulemererwa okuggula esomero lya St. James Church of Uganda eryagalwa emyaka 3 emabega.
Esomero lino KCCA yaligala olwokulemererwa okutukiriza ebisanyizo.
Okusinziira ku Mwogezi a KCCA Peter Kawuju, bakyanoonya nsimbi kuzimba ssomero ddala kubanga ekkadde lyaali mu kkubo lya lubigi nga libimba buli nkuba lw’etonnya.
Ono asabye abazadde okubagumikiriza banoonye amasomero amalala gyebayinza okusomeseza abaana