Amawulire

KCCA erumbye abakola ku by’enjigiriza

Ali Mivule

January 23rd, 2015

No comments

Nabagereka primary

Ekitongole kya KCCA kinenyeza ministry y’ebyenjigiriza obutakola kimala okutaasa esomero lya Nabagereka primary school.

Esomero lino  limenyeddwa ku makya galero bawanyondo ba kooti ngabakulembeddwamu omugagga John Bosco Muwonge eyafuna liisi ku ttaka lino okuva mu kitongole kya Uganda Land Commission.

Omwogezi wa KCCA Peter Kauju agambye nti ng’ekitongole bawandikira ministry y’ebyenjigiriza kunsonga z’esomero lino, era omuwandiisi wa ministry n’abakakasa nti esomero lino terigenda kumenyebwa, kyoka nabo kibabuseko esomero bwerimenyeddwa.

Kauju agambye nti KCCA eri mu kutama mpenda z’akufunira abaana abasoba mu 900 ababadde basomera mu somero lino, amasomero amala gyebasobola okusomera.