Amawulire
KCCA etabukidde aba taxi ku paakingi
Abagoba ba taxi mu kibuga bakangudde eddoboozi ku ky’okuboyebwa kwa taxi ezisimba ku makubo
Aba KCCA olwaleero bakoze ekikwekweto mwebakwatidde taxi zonna ezisimba awakyaamu ng’enguudo ezikoseddwa kwekuli Ntinda ne Jinja Road.
Aba taxi beetwogeddeko nabo bagamba nti basobeddwa ewaka ne mu kibira kubanga bu webadda babalumbayo
Wabula yye omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti omulimu gwaabwe kutereeza kibuga
Kawuju agamba nti omuntu yenna akwatibwa ng’asimbye awakyaamu wakusasula emitwaalo mukaaga mu faiyini oba okusindikibwa butereevu mu kkooti avunaanibwe