Amawulire
KCCA etongoza alipoota ku bubenje bwókunguddo mu kampala
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole kya Kampala Capital Authority kitongoza alipoota ekwata ku bukuumi bwókunguudo eya Annual Road Safety Report 2019-2020 eraze nti wabadewo okukendeera mu ku muwendo gwábantu abafiira mu bubenje bwókunguudo mu kibuga kampala ne bitundu 25%.
Okusinzira ku alipoota efulumizibwa enkya ya leero abantu abafiira mu bubenje bwokunguudo bakendera okuva ku bantu 315 mu 2019 okudda ku bantu 236 mu 2020.
Kino kitereedwa ku bukwakulizo obwajja ne kirwadde kya covid-19 omwali omuggalo nga abantu ne bidduka byali bitono ddala ku makubo.
Stella Namatovu omukwanaganya wemirimu mu kibiina kya BIGRS agambye nti okufa eri abantu abatambuza ebigere, abobuggaaali ne bodaboda kweyongera okuva ku 92% mu 2019 – 94% mu 2020.
Abavuzi babooda bavaako obubenje 48% mu 2019 ate mu 2020 ne bitundu 46% songa abavubuka wakati wemyaka 20 – 29 bebasinga okufa.
Wano Nankulu wekibuga Dorothy Kisaka wasabidde wabeewo empereza eyamangu eri abantu abagudde ku bubenje mu bintu ebyenjawulo