Amawulire

KCCA etongoza kawefube ow’okutumbula obukuumi bw’okunguudo

KCCA etongoza kawefube ow’okutumbula obukuumi bw’okunguudo

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala ki Kampala Capital City Authority- KCCA kitongozza kaweefube w’okuteekawo obukuumi kunguudo okuyita mu kukendeeza sipiidi nga bannansi beetegekera okuyingira sizoni y’ennaku enkulu.

Kaweefube ono agenderera okulaga obulabe obw’amaanyi obuva mukuvuga endiima era kawefube ono yasoose okubawo wansi wobuvugirizi obw’ekitongole kya Bloomberg Philanthropies Initiative for Global Road Safety Partnership.

Bwabadde ayogerera mu kutongoza kawefube ono, Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago agambye nti kampeyini eno egenda kutambulira ku ttivvi, leediyo, ne social media okumala omwezi gumu ng’abalaga akabi akali mu kuvuga sipiidi eri abakozesa enguudo.

Alipoota eya Kampala ekwata ku bukuumi bwokunguudo 2019_2020, yalaga nti abakozesa enguudo abakola ebitundu 92% ne 94% beebantu abaafa mu mwaka gwa 2019 ne 2020.

Abavuzi ba Pikipiki bokka baakola ebitundu 48% ne 46% ku bantu abaaloopebwa okufiira mu bubenje buno ate kumpi abantu 300 bebafa buli mwaka Kampala olw’obubenje ku nguudo.