Amawulire
KCCA eyagazaaki amasomero g’eddiini- DP
Ekibiina kya DP kitadde ku ninga kitongole kya KCCA kyenyonyoleko lwaki bakyalemedde ebyapa by’amasomero gonna agali ku musingi gw’ediini gebaagala okukulakulanya.
KCCA yawandikira amasomero gano gonna nga egasaba ebyapa byaago nga tebanatandika ku nteekateeka z’okukulakulanya amasomero gano.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabawandiisi w’ekibiina kino Matthias Nsubuga ategezezza nga KCCA bwekola kino okwagala okwezza amasomero gano.
Agamba singa kino tekinyonyolwa bulungi, bbo betegefu okukwatagana nebananyini masomero gano okutwala ensonga zino mu palamenti.
Wabula gyebuvuddeko amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba yategeeza nga bwekiri ekizibu KCCA okuteeka ensimbi mu ssomero lyebatamanyi buvo bwaalyo.