Amawulire
KCCA yetaaga obuwumbi bwensimbi 60 okuyoola kasasiro ne kazambi mu Kampala
Bya Prossy Kisakye,
Kampala Capital City Authority (KCCA) yetaaga obuwumbi bwensimbi 60 okusalira amagezi ekizibu kyakazambi, kasaasiro ne plastika mu kibuga.
okusinzira ku muwandiisi wébyensimbi nénzirukanya yémirimu mu KCCA, John Mary Ssebuufu, ngékitongole kikyagenda mu maaso nókukunganya kasasiro, kazambi, ebiccupa ne birala ebisuulibwa mu kibuga, ettaka bino gye birina okuyiibwa lyajula dda kuba likozesebwa disitulikiti zonna ezikola ebendobendo lya Kampala.
ono agamba nti singa gavt mu mwaka gwe byensimbi ogujja ebawa ensimbi zino bakugulayo ebimotoka ebiyoola kakasiro 10 okugatta ku biriwo.
Ssebuufu era agamba nti ensimbi zino era zakubayamba okuzimba ekifo we bongerera omutindo kubitwalibwa okuba kasasiro e Dundu mu Mukono district.