Amawulire
KCCA FC ne Vipers bakuggwa eggayangano
Bya Ali Mivule
Olwaleero kabbinkano kenyini mu liigi y’eggwanga nga abakulembedde aba KCCA FC baabika ne Vipers.
Omupiira guno ogusuubirwa okubeerako n’obugombe gwakubeera ku kisaawe kya KCCA ekya Phillip Omondi e Lugogo
Oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Sc Villa 1-1 e Masaka, omutendesi wa ttiimu ya KCCA Mike Mutebi ategezezza nti asuubira omupiira guno okubeera omuzibu wabula banonye bubonero 3.
KCCA yekulembedde liigi y’eggwanga n’obubonero 48 nga benkana ne Villa wabula KCCA eteebye goolo nyingi okusinga ku Villa.