Amawulire

Kisaka aggumiza abakozi abeera enguudo ku byókubongeza omusaala

Kisaka aggumiza abakozi abeera enguudo ku byókubongeza omusaala

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority, Dorothy Kisaka asabye abakozi abakola emirimu egyalejjalejja mu kitongole kino mu divizoni ttaano ez’ekibuga okubeera abagumiikiriza nga bwe basaba okubongeza emisaala.

Bino abyogedde bwabadde akwasa abakozi ba KCCA abakola emirmu omuli okweera enguudo nókuyonja emyala ebikozesebwa nga bakola emirimu gyabwe.

Agamba nti ekitongole kino kyakola dda embalirira y’okulinnyisa emisaala gy’abakozi bonna abakola egyalejjalejja kati bagezaako kuperereza gavt eyongereza ku mbalirira ya KCCA ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja era kino bwe kinaatuukirira bagenda kwongezebwa emisaala.

Cue Kisaka on salary Lug

Mungeri yeemu Kisaka asiimye Mandera Group of Companies olw’okutuukiriza obweyamo bwayo bwewadeyo ttani za kawunga ezisoba mu 10 eri abakozi ba KCCA abeera enguudo na bayonjo emyala.