Amawulire

Kisoro: Omulambo gw’omwana gukyabuze

Kisoro: Omulambo gw’omwana gukyabuze

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Abobuyinza mu disitulikiti ye Kisoro batandise kawefube, okusonda ssente ezokugula ekyuma ekigenda okuyamba mu kunoonya omulambo gwomwana owemyaka 11, eyabutikirwa ettaka mu njega eyabaddewo ku nkomerero yomwezi oguwedde.

Joshua Irakunda yoomu ku bafiira mu njega eyatwala obulamu bwabantu 9, mu gombolola ye Nyarusiza nga 24 January.

Bazadde bomwana ono John Nsenga ne Harriet Tumushabe nokutuusa kati bali mu maziga, oluvanyuma lwokufa kwomwana waabwe atenga nomulambo gukyabuze.

Irakunda yali muyizi ku ssomero lya Gitendera P/S mu disitulikiti ye Kisoro.

Wabula omubaka wa Bufumbira South mu palamenti Alex Seruganda ne ssentebbe wa disitulikiti ye Kisoro Abel Bizimana, nga bebawomye mu kawefube wokusonda ssente, bagamba nti gavumenti yabesamba, ekintu RDC Peter Mugisha kyawakanyizza.