Amawulire

Kkolera yakatta 2 E Namayingo

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

 

Cholera new

Omuwendo gw’abakakwatibwa  Kkolera mu district ye Nmayingo gulinye okutuuka ku bantu 40.

Bbo 2 bebakafa wabula nga waliwo okutya nti obulwadde buno bwandiyongera okusasanira mu bitundu ebirala.

Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti  eno  Mpimbaza Hashaka agamba baakutekawo enkambi mu gombolola ye Namutumba okutekamu abalwadde bonna kubatantagira okwegatta mu balamu ekirwadde kino basobole okukirinya ku nfeeta.

Agattako nti ab’ebyolumamu okuva mu district ye Jinja baatuuse dda e Namayingo wabula nga ekirwadde tekinaggwawo olw’abantu okwongera okuwangalira mu mbeera y’obukyafu.