Amawulire
Kkooti egobye omusango kunjaga
Bya Ruth Anderah,
Kkooti etaputa Ssemateeka mu ggwanga esazizzaamu etteeka elibadde likangavvula abakozesa ebilagalalagala n’okusingira ddala abali b’amayirungi, elyayisibwa Parliament ng’egamba nti omuwendo ogw’ababaka ogwalina okubeerawo mu lutuula olwaliyisa tegwaweera.
Abalamuzi 5 abakulembeddwamu omumyuka wa Ssabalamuzi Richard Buteera, omulamuzi wa Kkooti Ensukkulumu Stephen Musota, Muzamiru Mutangula Kibedi, Irene Mulyagonja ne Monica Mugyenyi, bakanyizza bukuyege n’okusaba okwabatwalirwa mu mwaka gwa 2017 abasuubuzi b’amayirungi wansi w’ekibiina ekibagatta ki Wakiso Mira Growers and Dealers Association Limited nga baloopa Ssabawolereza wa Gavumenti.
Etteeka lyali likangavvula omuntu yenna asangibwa nga alima amayirungi, agasuubula gattako nagalya, agatambuza wadde agatunda emitala w’amayanja kyebawakanya nga bagamba kimenya mateeka.
Abawaaba omusango bayita mu munamateeka Isaac Semakadde, ne bategeeza nga byonna ebibakorwako eby’efujjo nga ababikola beesigama ku tteeka elyo baali batyoboola dembe lyabwe kuba tebaalina bukakafu bwakikugu nti amayirungi gabulabe eri abagalya.
Kati Vincent Nsubuga sentebe wa Wakiso Mira Growers and Dealers Association, agamba ekirime kino kiyimirizzawo bangi mu byenfuna nga abakitunda mwebayita n’okuweerera abaana.
Eteeka lino lyayisibwa 19/11/2015 wabula ng’omuwendo gw’ababaka nagwo gwali teguwera.