Amawulire
Kkooti egyewo ekkoligo mu kusomesa abaana ebyékikulu
Bya Damali Mukhaye,
Kooti enkulu mu Kampala ejjeewo ekkoligo eryali lyayimiriza, ebikwata ku kusomesa abaana ebibakwatako n’obutonde bwabwe saako enkyukakyuka zebafuna mu bulamu oba Sexuality Education.
Kati minisitule yebyenjigiriza nemizannyo eragiddwa okugenda mu maaso okubaga etteeka erinarungamya okusoma okwengeri ngeno, mu myaka 2.
Bannakyewa aba Center for Health, Human Rights and Development (CEHURD) mu 2016, bebaddukira mu kooti okuwakanya gavumenti eyawera okumanyisa abaana ku bikwata ku byebayita ebyekikulu.
Kati omulamuzi Lydia Mugambe agambye nti ddembe lyabuntu okumanayisa abaana ebikwata ku bulamu bwabwe.
Bwabadde ayogera ne banamawulire mu Kampala, akulira emirimu ku kitongole kya, Rose Wakikona ayanirizza ennamula eno.