Amawulire

Kkooti elagidde Lukwago asasulwe 600m

Kkooti elagidde Lukwago asasulwe 600m

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omulamuzi wa kkooti enkulu mu kampala Andrew Bashaijja alagidde minisita wa Kampala Betty Kamya, ne kitongole kya KCCA ne ssabawolereza wa gavumenti okusasula loodi meeya wa Elias Lukwago obukadde 600 ngomusaala gwe gwatafuna mu banga lyeyamala nga agobedwa mu wofiisi mu mwaka gwa 2013.

Kkooti yasooka kulagira kcca esasule Lukwago wabula negaana

Kati bwabadde awa ensala ye omulamuzi Bashaijja agambye nti okujja Lukwago mu wofiisi okumala emyezi 30 kyakolebwa mu bukyamu okusinzira ku biragiro bya kkooti

Ngovudde ku nsimbi ezokumusasula ngomusaala, omulamuzi alagidde Lukwago aweebwe nobukadde 100 okuliyirira okufiirizibwa kwatuuseko mu musango guno

Omwaka oguwedde Lukwago yawawaabira ssabawolereza wa gavumenti ne sued KCCA olwokugaana okumuwa omusaala gwe ebbanga lyeyamala nga agobedwa mu wofiisi