Amawulire
Kkooti ensukulumu e Kenya ekakkasiza obuwanguzi bwa Ruto
Bya Mike Sebalu,
Kkooti ensukkulumu mu gwanga lya Kenya egobye okujulira okwagitwalirwa munnamukago gwa Uzimio Raila Odinga, mweyali ayagalira esazeemu ebyaava mu kulonda omukulembeze weggwanga omugya.
Akakiiko k’eby’okulonda e Kenya kalangilira William Ruto ng’omukulembeze w’eggwanga omulonde n’obululu obwakola ebitundu 50.49%.
Eyamuddilira Raila Odinga yafuna obululu obwakola ebitundu 48%.
Odinga yasalawo okwekubira enduulu mu Kkooti ensukkulumu ng’agamba nti okugatta obululu kwalimu ebilumira n’okusingira ddala nga awakanya enkola y’okutambuza obululu okuva mu bifo gyebalondera, kyeyagamba nti waliwo okubukwatamu.
Ssaabalamuzi mu gwanga lya Kenya Martha Koome, yaasomye ensalawo ya Kkooti etabaddemu kwetemamu nategeeza nga oludda oluwaabi bwelubuliddwa obujulizi obwoleka nti eyalangilirwa kubuwanguzi teyaweza bitundu bya bululu 50%.
Ssaabalamuzi era ategeezeza nga abalamuzi bwebaliddwa obujilizi obukakasa nti ddala kyetaagisa ebyaava mu kulonda bisazibwemu.
Bano era balagidde buli ludda lwekolere ku nsasaanya gyelukozesezza mu musango guno.
Mu ngeri yemu, Kkooti era etegeezezza ng’obuyinza obw’okulangilira ebivudde mu kulonda bwebuli mu mikono gya Sentebe w’akakiiko k’eby’okulonda nga ekya ba kamisona okumwabulira ku saawa esemba kyali tekirina wekikyusizza byaali bivudde mu kulonda okwo.
Ssaabalamuzi era ategeezezza nga eky’okwongezaayo okulonda mu bitundu ebimu eby’eggwanga bwekitaakolebwa mu mutima mubi wabula kyakolebwa lwa mbeera etaali ntebekenvu mu kiseera ekyo era nga tekyalina kakwate konna kekuusa nabikolwa byakubba bululu nga oludda oluwaabi bwelwategeeza.
Era okunonyereza kwa kkooti kuzudde nga tewali kibba bululu kyonna kyalabikira mu bitundu ebyo nga bwekibadde kigambibwa oludda oluwaabi.
Kati ebivudde mu Court bitegeeza nti William Ruto, wakulayizibwa ng’omukulembeze w’eggwanga lya Kenya sabiiti ejja.