Amawulire
Kkooti esabye okufuna obujjulizi okuva mu Kampuni zámasimu ku musango gwóbutujju
Bya Ruth Anderah,
Ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku buzzi bw’emisango mu kkooti enkulu kiragidde kkampuni z’amasimu okuli eya Airtel Uganda ne MTN Uganda okubawa olukalala lwe ennamba z’essimu ezikubirwa agambibwa okuba omutujju ne bakubira.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Richard Wejuli oluvannyuma lw’omuvunanwa Usufu Nyanzi okumumatiza nti ayagala ebiwandiiko by’essimu bimuyambe okwewozaako ku fayiro ssatu ez’enjawulo omuli emisango egy’enjawulo gy’avunaanibwa.
Okusinziira ku mpapula z’emisango, Nyanzi yasooka kukwatibwa ku ntandikwa ya 2017 ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi, Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva Godfrey Mambewa nga March 17th 2017.
Yasimbiddwa mu maaso ga Kkooti ku misango gy’obutemu, obutujju, n’okubeera mu kibinja ky’abatujju ekya ADF.
Ono era yavunaanibwa omusango gw’okutta Major Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Sargent Steven Mukasa nga November 26th, 2016 mu Masanafu Rubaga Division, ekisangibwa mu kibuga Kampala.
Nga wayise omwaka mulamba bukya ayimbulwa ku kakalu ka kkooti, Nyanzi yazzeemu okukwatibwa okuva mu maka ge e Kisaasi- Kyanja ku by’okugezaako okutta minisita w’emirimu n’entambula, General Edward Katumba Wamala n’okutta muwala we Brenda Nantongo ne ddereeva nga June 1st 2021.