Amawulire
Kkooti esuubira okusalawo mu kusaba kwa Minisita Lugoloobi
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ekola kumisangogy’obulyake n’obukenuzi olwaleero esuubirwa okutunula munsonga ya Minisita ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi gyeyateekayo nga asaba okumukakanyiza kubukwakulizo obwamusibwaako olw’emisango ejimuvunaanibwa.
Omulamuzi Pamela Lamanu, olwaleero asuubirwa okusalawo kunsonga eno okukakanyaamu kubukwakulizo oba okubulekawo.
Nga enaku z’omwezi 4/07/2023 minister Amos Lugoloobi lweyasaayo okusabakwe eri kkooti eno eddirizeemu mu byasalibwaawo omulamuzi wa kkooti esooka Albert Asiimwe nga ajisaba emuddize passport ye asobole okuddamu okutambula akole emirimo gy’eggwanga ejimwetaagisa
Minisita Lugoloobi nga ayita mu bannamateeka be okuli Tonny Tumukunde agambye nti azze nga ayitibwa ebweru w’eggwanga okukikirira Uganda kunsonga ezitali zimu naye talina wayita olw’obutaba nampapula zimukiriza kutambula .
Kinajjukirwa nti mu mwezi ogw’okuna omwaka guno Lugoloobi naye ali omu kubakungu ba gavumenti abagulwako omusango ogw’okubba amabaati, gavumenti geyali ewadeyo gayambe abantu be Karamoja.