Amawulire

Kkooti eyimirizza KCCA okumenya akatale ka Kisekka

Ali Mivule

December 18th, 2014

No comments

kisekka mkt

Agava mu kootii , galaga nga abasuubuzi bomu Katale ka Kisekka bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okuyimiriza ekitongole kya KCCA  okubasengula nga okuva mukatale kano akagenda okuddabirzibwa, okutuusa  nga 14 January kkooti bwenaaba emaze okuwulira omusango abasuubuzi gwebaawaba nga bawakanya eky’okubasengula.

Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu  Festo Nsenga .

Abasuubuzi abamu  baali baddukira mu kkooti nga bawakanya eky’okubasengula ku nkomerero y’omwaka guno, nga tebaweereddwa wakugira nga bakolera.

Bano baakulemberwamu  Asadi Bukenya ne Ali Masembe  nga bagamba tebaalina waakulaga nga bagobeddwa.